Psalms 29

Zabbuli ya Dawudi.

1 aMutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 bMutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.

3 cEddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 dEddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 eEddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 fAleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni
Siriyooni linnya eribbulwa mu bitundu bya Kalumooni. Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono obw’ensi ensuubize
ng’ennyana y’embogo.
7Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 hEddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 iEddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”

10 j Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11 k Mukama awa abantu be amaanyi;
Mukama awa abantu be emirembe.
Copyright information for LugEEEE